Isaiah 26:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku olwo oluyimba luno luliyimbirwa mu nsi ya Yuda nti: “Tulina ekibuga ekigumu, ataddewo obulokofu ng'ekigo n'emiziziko gyakyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu biro ebyo oluyimba luno luliyimbibwa mu nsi ya Yuda. Tulina ekibuga eky’amaanyi; Katonda assaawo obulokozi okuba bbugwe waakyo n’ekigo kyakyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku luli oluyimba luno luliyimbirwa mu nsi ya Yuda: nti, “Tulina ekibuga eky'amaanyi; obulokozi bw'alissaawo okuba bbugwe n'enkomera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olunaku lulituuka, oluyimba luno ne luyimbirwa mu Buyudaaya nti: “Tulina ekibuga eky'amaanyi. Katonda yennyini ye yakiteekako ebigo n'enkomera ebikitaasa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku lunaku luli oluyimba luno luliyimbirwa mu nsi ya Yuda: nti Tulina ekibuga eky'amaanyi; obulokozi bw'alissaawo okuba bbugwe n'enkomera.