Isaiah 26:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekisa ne bwe kigirirwa omubi, tategeera butuukirivu; ne mu nsi erimu obutuufu bongera kukola bubi, tebalaba bukulu bwa Mukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omukozi w’ebibi ne bw’akolerwa ebyekisa, tayiga butuukirivu. Ne bw’abeera mu nsi ey’abatuukiridde, yeeyongera kukola bibi, era talaba kitiibwa kya Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omubi ne bwe bamulaga ekisa, era taliyiga butuukirivu; mu nsi ey'obugolokofu mw'anaakoleranga ebitali bya nsonga, so taliraba bukulu bwa Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ababi ne bwe bakolerwa eby'ekisa, era tebayiga kukola bituufu. Ne mu nsi y'abantu abeesimbu era bakoleramu ebikyamu, ne batalaba bukulu bwa Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omubi ne bwe bamulaga ekisa, era taliyiga butuukirivu: mu nsi ey'obugolokofu mw'anaakoleranga ebitali bya nsonga, so taliraba bukulu bwa Mukama.