Isaiah 26:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Mukama, omukono gwo gugoloddwa, naye bo tebagulaba. Ka balabe bw'otakabanira abantu bo, baswale; ka omuliro ogwategekerwa abalabe bo gubasenkenye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda omukono gwo guyimusibbwa waggulu, naye tebagulaba. Ka balabe obunyiikivu bwo eri abantu bo baswazibwe, omuliro ogwaterekerwa abalabe bo ka gubamalewo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama, omukono gwo guyimusibwa, naye tebagulaba, naye baliraba obunyiikivu bwo eri abantu ne bakwatibwa ensonyi; leka omuliro ogwaterekerwa abalabe gubamalewo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama, omukono gwo ogugolola okubabonereza, naye tebalaba. Leka baswale era baboneebone. Bawe ekibonerezo ky'otegekedde abalabe bo. Balage bw'olumirwa abantu bo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama, omukono gwo guyimusibwa, naye tebalaba: naye baliraba obunyiikivu bwo olw'abantu ne bakwatibwa ensonyi; weewaawo, omuliro gulyokya abalabe bo.