Isaiah 26:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Mukama Katonda waffe, abafuzi abalala ng'oggyeeko ggwe batufuze, naye erinnya lyo lyokka lye tumanyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayi Mukama Katonda waffe, abafuzi abalala batufuze nga wooli naye erinnya lyo lyokka lye tussaamu ekitiibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayi Mukama Katonda waffe, abaami abalala batufuze ggwe nga woli, naye erinnya lyo lye tunaayatulanga lyokka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama Katonda waffe, tufugiddwako n'abalala abatali ggwe, naye ggwe wekka, ggwe tumanyi ng'Omufuzi waffe ow'oku ntikko.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ai Mukama Katonda waffe, abaami abalala awali ggwe baatufuganga; naye ggwe tunaayatulanga erinnya lyo wekka.