Isaiah 26:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati bafu, tebaliddamu kubeera balamu; bisiikirize, tebalizuukira. Wababonereza n'obazikiriza, wabasangulira ddala mu bujjukizi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baafa, tebakyali balamu; egyo emyoyo egyagenda tegikyagolokoka. Wababonereza n’obazikiriza, wabasaanyizaawo ddala bonna, ne watabaawo akyabajjukira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Baafa, tebakyali balamu; bazikiridde, tebagolokoka nate, kyewava obajjira n'obasangulawo n'obuza okujjukirwa kwabwe kwonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo kaakano bafudde, tebakyali balamu; bafuuse bagenzi era tebakyadda, kubanga wababonereza n'obazikiriza, era tewaliba abajjukira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bafudde, tebaliba balamu; bazikiridde, tebalizuukira: kyewava obajjira n'obasangulawo n'obuza okujjukirwa kwabwe kwonna.