Isaiah 26:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ayi Mukama, mu buyinike baakunoonya, ne beegayirira nga bamuumuunya bwe wababonereza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda, bajja gy’oli mu nnaku yaabwe, bwe wabakangavvula, tebaasobola na kukusaba mu kaama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama, lwe balabye ennaku lwe bakujjidde, baafuka okusaba okukangavvula kwo bwe kwali ku bo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama, abantu bo bwe baalaba ennaku, ne bajja gy'oli; bwe wababonereza, ne bakuwanjagira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama, lwe balabye ennaku lwe bakujjidde, baafuka okusaba okukangavvula kwo bwe kwali ku bo.