Isaiah 26:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era kyenkana ng'omukazi ali olubuto, bwe yeenyoola n'aleekaana mu kulumwa, naffe bwe tuli mu maaso go, ayi Mukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ng’omukyala ow’olubuto anaatera okuzaala, bw’alumwa n’akaaba mu bulumi, bwe tutyo bwe twali mu maaso go, Ayi Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ng'omukazi ali olubuto, ebiro eby'okuzaala kwe nga binaatera okutuuka, bw'alumwa n'akaaba ng'abalagalwa; bwe tutyo bwe twabanga mu maaso go, ayi Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ng'omukazi ali olubuto bw'alumwa ebisa n'akaaba ng'ebiseera bye eby'okuzaala bituuse, naffe bwe tutyo, ayi Mukama, bwe twabanga mu maaso go.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ng'omukazi ali olubuto, ebiro eby'okuzaala kwe nga binaatera okutuuka, bw'alumwa n'akaaba ng'abalagalwa; bwe tutyo bwe twabanga mu maaso go, ai Mukama.