Isaiah 26:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Twafuna olubuto, ne twenyoola mu bulumi, naye twazaala mpewo; ensi tetwagireetera bulokofu, n'olw'ekyo abantu b'omu nsi tebaazaalibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Twali lubuto, twalumwa, naye twazaala mpewo Tetwaleeta bulokozi ku nsi, tetwazaala bantu ba nsi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Twali lubuto, twalumwa, twazaala mpewo; tetwaleeta kulokola kwonna mu nsi; so n'abatuula mu nsi tebagudde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Twali lubuto, ne tulumwa okuzaala, naye tewali kye twazaala. Tetulina kya mugaso kye tukoledde nsi, n'abatuuze baamu tetubayigirizza kituufu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Twali lubuto, twalumwa, twazaala mpewo; tetwaleeta kulokola kwonna mu nsi; so n'abatuula mu nsi tebagudde.