Isaiah 26:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye abafu bo bagenda kuddamu obulamu; emibiri gyabwe girizuukira. Mmwe abali mu nfuufu, muzuukuke, mutendereze. Kubanga ssuulwe owuwo musulo gwa kitangaala; olimusuula ku nsi y'abaafa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abafiira mu ggwe balirama, emibiri gyabwe girizuukira. Mugolokoke, muleekaane olw’essanyu. Ssuulwe wo ali ng’omusulo ogw’oku makya, ensi erizaala abafudde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abafu bo baliba balamu; emirambo gyabwe girizuukira. Muzuukuke muyimbe, mmwe ababeera mu nfuufu: kubanga omusulo gwo guli ng'omusulo ogw'oku makya, n'ettaka liriwandula abafu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Abantu bo abafudde baliddamu obulamu, abafu abo balizuukira. Bonna abeebase mu nfuufu, balizuukuka ne bayimba olw'essanyu. Ng'amatondo g'omusulo gw'oku makya bwe gaweweeza ensi, ne Mukama bw'atyo bw'alizzaamu abo obulamu abaafa edda.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abafu bo baliba balamu; emirambo gyange girizuukira. Muzuukuke muyimbe, mmwe ababeera mu nfuufu: kubanga omusulo gwo guli ng'omusulo ogw'oku middo, n'ettaka liriwandula abafu.