Isaiah 26:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Omukama ajja kuvaayo mu kisulo kye, okubonereza ab'oku nsi olw'ebibi byabwe; n'ensi eryoleka omusaayi ogwagiyiirwako, tekyasobola kwongera kukisa baagittirwako.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Weewaawo laba Mukama Katonda ava mu kifo kye gy’abeera okubonereza abantu b’ensi olw’ebibi byabwe. Ensi erikwekula omusaayi ogwagiyiikako, era teriddayo nate kukweka abattibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga, laba, Mukama ajja ng'afuluma mu kifo kye okubonereza abatuula mu nsi olw'obutali butuukirivu bwabwe; n'ensi eriggyayo musaayi ogwagiyiikako, era teriddayo kubikka ku baalyo abattibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga Mukama wuuyo avudde mu ggulu gy'abeera n'ajja okubonereza abantu ku nsi, olw'ebibi byabwe. Obutemu obwakolebwa ku nsi mu nkukutu bulimanyibwa mu lwatu. Ettaka teriryeyongera kukweka abo abattibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga, laba, Mukama ajja ng'afuluma mu kifo kye okubonereza abatuula mu nsi olw'obutali butuukirivu bwabwe: n'ettaka nalyo liribikkula ku musaayi gwalyo; so teriryeyongera kubikka ku baalyo abattibwa.