Isaiah 26:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwesigenga Omukama emirembe gyonna, kubanga Omukama Katonda Lwazi olw'olubeerera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Weesigenga Mukama ennaku zonna, kubanga emirembe giri waggulu mu Mukama, Mukama Katonda oyo atoowaza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mwesigenga Mukama ennaku zonna: kubanga Mukama Yakuwa lwe lwazi olutaggwaawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwesigenga Mukama ennaku zonna kubanga Mukama lwe lwazi omwewogomwa emirembe gyonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mwesigenga Mukama ennaku zonna: kubanga mu Mukama Yakuwa mwe muli olwazi alutaliggwaawo.