Isaiah 26:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tukulindiridde ayi Mukama, nga tuli mu kkubo ery'ennamula yo; okusuubirira mu ggwe n'okujjukira erinnya lyo, ekyo omwoyo gwaffe kye gwegomba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Weewaawo Mukama Katonda tukulindirira nga tutambulira mu mateeka go, era erinnya lyo n’okumanyibwa kwo kwe kwegomba kw’emitima gyaffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Weewaawo, mu kkubo ery'emisango gyo, ayi Mukama, mwe twakulindiriranga; eri erinnya lyo n'eri ekijjukizo kyo ye eri okwoya kw'obulamu bwaffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Weewaawo ayi Mukama, tugoberera ky'oyagala, ne tusuubira mu ggwe. Era mu kukujjukira mwe tufunira bye twegomba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Weewaawo, mu kkubo ery'emisango gyo, ai Mukama, mwe twakulindiriranga; eri erinnya lyo n'eri ekijjukizo kyo ye eri okwoya kw'obulamu bwaffe.