Isaiah 26:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omwoyo gwange gukuyaayaanira ekiro, ku makya omutima gwange gukunoonya. Anti ennamula yo bw'eba mu nsi, abantu mu nsi bategeera obutuukirivu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omwoyo gwange gukuyaayaanira mu kiro, omwoyo gwange gukunoonyeza ddala. Bw’osalira ensi omusango, abantu b’ensi bayiga obutuukirivu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omwoyo gwange gukuyaayaanira mu kiro, omwoyo munda yange gukunoonyeza ddala, kubanga emisango gyo bwe gibeera mu nsi, ababeera mu nsi bayiga obutuukirivu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omutima gwange gukwegomba ekiro, omwoyo gwange ne gwewaayo okukunoonya, kubanga bw'osala emisango mu nsi abatuuze baamu lwe bayiga obwenkanya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nakwoyanga n'obulamu bwange ekiro; weewaawo, nakeeranga mu makya okukunoonya n'omwoyo gwange munda yange: kubanga emisango gyo bwe gibeera mu nsi, abatuula ku ttaka lwe bayiga obutuukirivu.