Isaiah 27:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku olwo Omukama n'ekiso ekigumu, ekinene ate eky'amaanyi, alibonereza Leviyatani, essota eryemulula, Leviyatani, essota erikuba amakata, alitta ssessota w'omu nnyanja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu biro ebyo, Mukama Katonda alibonereza n’ekitala kye, ekitala kye eky’amaanyi, ekikambwe era ekinene, alibonereza Lukwata omusota ogwekulungula, Lukwata omusota ogwezinga, atte n’ogusota gw’ennyanja.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku luli Mukama alibonereza lukwata omusota oguwulukuka n'ekitala kye eky'obwogi ekinene eky'amaanyi, ne lukwata ogwegoloŋŋonya; era alitta ogusota oguli mu nnyanja.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiseera ekyo bwe kirituuka, Mukama alikozesa ekitala kye ekinene eky'amaanyi era eky'obwogi, okubonereza Lukwata ogusota ogwenyogootola, Lukwata ogusota oguzinga amakata, era alitta gugoonya ogubeera mu nnyanja.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku lunaku luli Mukama alibonereza lukwata omusota oguwulukuka n'ekitala kye eky'obwogi ekinene eky'amaanyi, ne lukwata ogwegoloŋŋonya; era alitta ogusota oguli mu nnyanja.