Isaiah 27:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekibuga ekinywevu kati matongo, awabadde wasengeddwa abantu waabuliddwa, kisigadde ttayo ng'eddungu; obuyana buliira omwo, bugalamira omwo, amatabi buleka makalu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ddala ddala ekibuga ekyaliko enkomera kaakano matongo, ekirekeddwa awo ng’eddungu. Eyo ennyana gy’eriira era gy’egalamira, n’erya amalagala gonna ku matabi gaago.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ekibuga ekyabangako enkomera kifuuse kifulukwa, matongo agalekeddwawo, ng'eddungu: awo ennyana w'eririira, era awo w'erigalamira n'erya amatabi gaamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekibuga ekyabangako ebigo ebigumu kaakano kifuuse kifulukwa, matongo agalekeddwawo ng'eddungu. Lifuuse ddundiro, amagana mwe gawummulira, ne geeriira ku makoola g'emiti.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ekibuga ekyabangako enkomera kifulukwa, matongo agalekeddwawo, ng'eddungu: awo ennyana w'eririira, era awo w'erigalamira n'erya amatabi gaamu.