Isaiah 27:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amatabi gaakyo bwe gakala, ne gamenyeka; abakazi bajja ne bagakumisa omuliro. Kubanga abantu bano tebalina kutegeera, n'Eyabakola kyaliva alema okubakwatirwa ekisa; Eyababumba talibalaga busaasizi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amatabi gaakyo bwe gakala, gamenyebwako, abakazi ne bagakuŋŋaanya ne bagakumisa omuliro. Bano bantu abatategeera, eyamukola tamusaasira, n’eyamutonda tamukwatirwa kisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amatabi gaamu bwe galiwotoka, galiwogolwa; abakazi balijja ne bagookya, kubanga be bantu abatalina magezi; eyabakola kyaliva alema okubasaasira, era eyababumba talibalaga kisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amatabi g'emiti gyamu bwe galiwotoka, galiwogolwa, abakazi ne bagatyaba enku. Abantu nga bwe batalina magezi, tebalisaasirwa yabatonda, wadde okukwatirwa ekisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amatabi gaamu bwe galiwotoka, galiwogolwa; abakazi balijja ne bagookya: kubanga be bantu abatalina magezi; eyabakola kyaliva alema okubasaasira, era eyababumba talibalaga kisa.