Isaiah 27:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku olwo okuva ku Mugga okutuuka ku Kiwonvu Misiri Omukama aliwewa eŋŋano; mulikuŋŋaanyizibwa kinnoomu, mmwe abantu ba Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu biro ebyo Mukama alikusengejja okuva mu mazzi agakulukuta ag’Omugga Fulaati okutuuka ku mugga gw’e Misiri we guyiwa, era mmwe abaana ba Isirayiri mulikuŋŋaanyizibwa kinnoomu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olulituuka ku lunaku luli Mukama alikukuŋŋunta okuva ku mugga Fulaati, okutuuka ku kagga k'e Misiri, era mulikungulwa kinnoomu kinnoomu, mmwe abaana ba Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olunaku olwo bwe lulituuka, Mukama alikuŋŋaanya abantu be Abayisirayeli okuva ku Mugga Ewufuraate, okutuuka ku kagga ak'oku nsalo n'e Misiri, ng'omuntu bw'akuŋŋunta eŋŋaano n'agyawula mu bisusunku.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka ku lunaku luli Mukama alikuŋŋunta okuva ku ntaba ez'Omugga okutuusa ku mugga ogw'e Misiri, era mulikungulwa kinnoomu kinnoomu, mmwe abaana ba Isiraeri.