Isaiah 27:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nze Omukama, nze ngikuuma; ngifukirira buli kaseera; ngikuuma emisana n'ekiro, sikulwa nga wabaawo agyonoona.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nze Mukama Katonda, ennimiro nze ngirabirira era nze ngifukirira buli kiseera. Ngikuuma emisana n’ekiro Waleme kubaawo n’omu agikola akabi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nze Mukama ndukuuma; ndufukirira amazzi buli kaseera, ekintu kyonna kireme okulwonoonanga, ndukuuma emisana n'ekiro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ngikuuma era ngifukirira amazzi buli kaseera. Ngirabirira emisana n'ekiro, waleme kubaawo kintu na kimu kigyonoona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nze Mukama ndukuuna; naalufukiriranga amazzi buli kaseera: ekintu kyonna kireme okulwonoonanga, naalukuumanga emisana n'ekiro.