Isaiah 27:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amukubye nga bwe yakuba eyamukuba, nandiki attiddwa ng'abaamutta bwe battibwa?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama amukubye omuggo ng’akuba abo abaamukuba? Attiddwa nga be yatta, bwe battibwa?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amukubye nga ye bwe yakuba abo abaamukuba? oba attiddwa ng'abo bwe battibwa be yatta?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yisirayeli, Mukama tagibonerezza nnyo na bukambwe, nga bw'abonerezza abalabe baayo, era yo tefiiriddwa bantu baayo bangi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amukubye nga ye bwe yakuba abo abaamukuba? oba attiddwa ng'abo bwe battibwa be yatta?