Isaiah 27:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oyambalaganye naye n'omutabaala, n'omuwaŋŋangusa; n'olufuuwa olw'obusungu amufuuye eri, nga ku lunaku olwa kikuŋŋunta ow'ebuvanjuba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olwanagana naye n’omusobola, n’omuwaŋŋangusa, omugoba n’okuwuuma okw’amaanyi, ng’embuyaga ey’ebuvanjuba bw’efuuwa ku lunaku lwayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'omusindika okugenda owakana naye mu kigero; amujjuludde n'okuwuuma kwe okw'amaanyi ku lunaku olw'embuyaga eziva ebuvanjuba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama yabonereza abantu be ng'abawaŋŋangusa. Yabakuŋŋunsa ne kibuyaga we omukambwe, ava ebuvanjuba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'omusindika okugenda owakana naye mu kigero; amujjuludde n'okuwuuma kwe okw'amaanyi ku lunaku olw'embuyaga eziva ebuvanjuba.