Isaiah 27:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'olwa kino omusango gwa Yakobo gujja kumusonyiyibwa. Bino bye bibala byonna ebiriva mu kuggyawo ekibi kye: amayinja gonna ag'omwaliiro bw'aligaasa obulere, ng'amayinja ag'ennoni; bwe watalisigala mpagi ya Asera n'emu ng'eyimiridde, yadde emyaliiro gy'obubaani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekyo kye kiriggyawo omusango gwa Yakobo, era ekyo kye kiriba ekibala ekijjuvu ekiriggyawo ekibi kye. Bw’aliddira amayinja gonna ag’ekyoto okuba amayinja ag’ennoni agayasiddwayasiddwa, tewaliba Baasera newaakubadde ebyoto eby’okwoterezaako obubaane ebirisigala biyimiridde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obutali butuukirivu obwa Yakobo kyebuliva bulongoosebwa n'ekyo, era ekyo kye kibala kyonna eky'okuggyako ekibi kye; bw'afuula amayinja gonna ag'ekyoto ng'ebisibosibo ebisekulwasekulwa, Baasera baabwe n'ebyoto eby'okwoterezaako obubaane birisigala biyimiridde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli bwe balimenyaamenya alutaari za balubaale, amayinja gaazo ne bagasekulasekula ng'ennoni, alutaari ezo ne zitaddayo kwoterezebwako bubaane, era ne watasigalawo kabonero ka Asera, lubaale omukazi, olwo lwe balisonyiyibwa ebibi byabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obutali butuukirivu obwa Yakobo kyebuliva bulongoosebwa n'ekyo, era ekyo kye kibala kyonna eky'okuggyako ekibi kye; bw'afuula amayinja gonna ag'ekyoto ng'ebisibosibo ebisekulwasekulwa, Baasera n'ebifaananyi by'enjuba n'okuyimuka ne bitayimuka nate.