Isaiah 28:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zikusanze engule y'okwekuza kw'abatamiivu ba Efurayimu, n'ekimuli kyayo ekigenda kisiiwuuka eky'ekitiibwa ky'ettendo lye, ebiri waggulu w'ekiwonvu ekigimu eky'abo abameggeddwa omwenge!
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Zikusanze engule ey’amalala g’abatamiivu aba Efulayimu, zikusanze ekimuli ekiwotoka eky’obulungi bw’ekitiibwa kye, ekiri ku mutwe gw’ekiwonvu ekigimu, Zikusanze ekibuga ky’abo abatamiivu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Zisanze engule ey'amalala ag'abatamiivu ab'omu Efulayimu, n'ekimuli ekiwotoka eky'obulungi bwe obw'ekitiibwa, ekiri ku mutwe gw'ekiwonvu ekigimu eky'abo abameggebwa omwenge!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obwakabaka bwa Yisirayeli obw'abeekuza era abatamiivu, nga zibusanze! Ekitiibwa kyabwe kiseebengeredde. Kiri ng'engule ez'ebimuli ebiwotose, eziri ku mitwe gy'abakulembeze baakyo abeemalidde mu kunywa omwenge.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Zisanze engule ey'amalala ag'abatamiivu ab'omu Efulayimu, n'ekimuli ekiwotoka eky'obulungi bwe obw'ekitiibwa, ekiri ku mutwe gw'ekiwonvu ekigimu eky'abo abameggebwa omwenge!