Isaiah 28:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga abantu aboogera engeri n'ab'ennimi engwira Omukama mw'aliyita okwogera n'abantu bano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Weewaawo, Katonda alyogera eri abantu abo n’emimwa emigenyi mu lulimi olugwira,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nedda, naye alyogera n'abantu bano n'emimwa emigenyi era n'olulimi olulala:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oba tebaagala kuwulira bye ŋŋamba, Mukama alikozesa abagwira aboogera olulimi olulala, n'abategeeza ky'ayagala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nedda, naye alyogera n'abantu bano n'emimwa emigenyi era n'olulimi olulala: