Isaiah 28:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'olw'ekyo, muwulire ekigambo ky'Omukama, mmwe abaduuze, mmwe abafuga abantu bange abali mu Yeruzaalemu;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo muwulire ekigambo kya Mukama Katonda mmwe abantu abanyoomi, mmwe abafuga abantu ababeera mu Yerusaalemi ne mubanyooma.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale, muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abanyooma, abafuga abantu bano abali mu Yerusaalemi,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale mmwe abanyoomi abafuga abantu bano ab'omu Yerusaalemu, muwulire, Mukama ky'agamba nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale, muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abanyooma, abafuga abantu bano abali mu Yerusaalemi nti