Isaiah 28:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
anti mubadde mwetenda nti: “Twakola endagaano n'olumbe, twakkaanya n'amagombe, akabenje ddekabusa bwe kaliyita, tekalitutuukako, kubanga obulimba tubufudde obuddukiro bwaffe, n'obukuusa tubufudde obwewogomo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Weewaawo mwewaana nga bwe mugamba nti, “Twakola endagaano n’okufa, era twalagaana n’amagombe. Ekikangabwa eky’amaanyi ne bwe kijja, tekirina kye kiyinza kutukola, kubanga tufudde obulimba ekiddukiro kyaffe, era mu bukuusa mwe twekwese.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga mwogedde nti, “Tulagaanye endagaano n'okufa, era tutabaganye n'amagombe; ekibonyoobonyo ekyanjaala bwe kiriyitamu, tekiritutuukako; kubanga tufudde eby'obulimba ekiddukiro kyaffe, era twekwese wansi w'obukuusa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Nga bwe mwewaanye nti mukoze endagaano n'olumbe, mutegeeraganye n'amagombe, era nti ekikangabwa ekyanjaala bwe kiriyita mu nsi tekiribatuukako mmwe, kubanga eby'obulimba bye mufudde ekiddukiro kyammwe era mwekwese wansi w'obulimba!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga mwogedde nti Tulagaanye endagaano n'okufa, era tutabaganye n'amagombe; ekibonyoobonyo ekyanjaala bwe kiriyitamu, tekiritutuukako; kubanga tufudde eby'obulimba ekiddukiro kyaffe, era twekwese wansi w'obukuusa: