Isaiah 28:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obutuufu ndibufuula olukoba olupima, obutuukirivu bwe ndifuula akaliiso, omuzira gw'amayinja gwe gulimalawo obuddukiro bwo obw'obulimba; n'amazzi galyanjaalira mu bwewogomo bwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndifuula obwenkanya okuba omuguwa ogupima, n’obutuukirivu okuba omuguwa ogutereeza, era omuzira gulyera ekiddukiro ekyobulimba, n’amazzi galyanjaala ku kifo eky’okwekwekamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndifuula omusango okuba omugwa ogugera, n'obutuukirivu okuba omugwa ogutereeza; n'omuzira gulyerera ddala ekiddukiro eky'obulimba, n'amazzi galyanjaala ku kifo eky'okwekwekamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obwenkanya bwe ndifuula olukoba olugera, n'obutuufu bwe buliba omuguwa ogutereeza.” Amayinja ag'omuzira galyerawo obulimba bwe mwewogomamu, n'amazzi galyanjaala ne gazikiriza ekifo kye mwekwekamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndifuula omusango okuba omugwa ogugera, n'obutuukirivu okuba omugwa ogutereeza: n'omuzira gulyerera ddala ekiddukiro eky'obulimba, n'amazzi galyanjaala ku kifo eky'okwekwekamu.