Isaiah 28:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Endagaano yo n'olumbe erisangulibwawo; okukkaanya kwammwe n'amagombe tekulisigalawo; akabenje ddekabusa bwe kaliyita, kalibalinnyirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’endagaano gye walagaana n’okufa erijjulukuka, n’endagaano gye walagaana n’amagombe terinywera. Ekikangabwa eky’amaanyi bwe kirijja, kiribagwira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'endagaano gye mwalagaana n'okufa erijjulukuka, so n'okutabagana kwe mwatabagana n'amagombe tekulinywera; ekibonyoobonyo ekiryanjaala bwe kiriyitamu, ne kiryoka kibalinnyirira wansi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Endagaano yammwe gye mwakola n'okufa erimenyebwawo, n'okutegeeragana kwammwe kwe mwategeeragana n'amagombe, kulikoma. Ekikangabwa ekiryanjaala bwe kiriyita mu nsi, kirireka kibalinnyiridde wansi
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'endagaano gye mwalagaana n'okufa erijjulukuka, so n'okutabagana kwammwe kwe mwatabagana n'amagombe tekulinywera; ekibonyoobonyo ekiryanjaala bwe kiriyitamu, ne kiryoka kibalinnyirira wansi.