Isaiah 28:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli lwe kanajjanga, kanaabatwalanga; kanaayitanga ku makya buli lunaku, buli misana na buli kiro.” Obubaka buno bwe bulitegeerwa, kigenda kuleeta ntiisa njereere.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Weewaawo buli lwe kinaayitanga, kinaabagwiranga buli lukya emisana n’ekiro.” Era okutegeera obubaka buno kirireeta ntiisa njereere.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli lwe kinaayitangamu, kinaabakwatanga; kubanga buli lukya kinaayitangamu emisana n'ekiro, era okutegeera obubaka buno kulireta ntiisa nsa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli lwe kinaayitanga mu nsi, kinaabalinnyiriranga buli lukya, ka bube misana, ka bube kiro. Era buli bubaka obuva eri Katonda, bunaabanga bwa ntiisa nsa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Buli lwe kinaayitangamu; kinaabakwatanga; kubanga buli lukya kinaayitangamu emisana n'ekiro: era okutegeera ebibuulirwa kuliba ntiisa nsa.