Isaiah 28:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama wuuyo alinawo omu ow'obuyinza ate ow'amaanyi; nga kibuyaga ow'omuzira oba nga kikuŋŋunta ddekabusa, ng'enkuba ey'amaanyi oba ng'enkuba ey'amataba, alibamegguza n'amaanyi wansi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba, Mukama wa maanyi mangi ddala, ng’embuyaga ey’omuzira n’embuyaga ezikiriza, ng’enkuba ey’amaanyi ereeta amataba, bwe ndisuula ekibuga ekyo n’amaanyi mangi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, Mukama alina ow'amaanyi era omuzira; nga kibuyaga alimu omuzira, embuyaga ezizikiriza, ng'amazzi amangi ag'amaanyi agayanjaala ennyo, bw'atyo bw'alisuula wansi ku ttaka n'omukono.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ddala Mukama alinawo ow'amaanyi era omuzira, anaatera okubalumba. Oyo ali nga kibuyaga alimu omuzira n'embuyaga ezikiriza, ali ng'amazzi amangi ag'amaanyi, agajja ne ganjaala ennyo. Bw'atyo alitalaaga ensi n'agizikiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, Mukama alina ow'amaanyi era omuzira; nga kibuyaga alimu omuzira, embuyaga ezizikiriza, ng'amazzi amangi ag'amaanyi agayanjaala ennyo, bw'atyo bw'alisuula wansi ku ttaka n'omukono.