Isaiah 28:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama alisituka nga bwe yakola ku lusozi Perazimu, ajja kugugumuka nga bwe kyali mu kiwonvu ky'e Gibewoni; okutuukiriza ekikolwa kye, ekikolwa eky'engeri. akole omulimu gwe, omulimu ogutali gwa bulijjo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Weewaawo Mukama aligolokoka nga bwe yagolokoka ku Lusozi Perazimu, era alisunguwala nga bwe yasunguwalira mu Kiwonvu eky’e Gibyoni, alyoke akole omulimu gwe, omulimu gwe ogwewuunyisa, atuukirize omulimu gwe, omulimu gwe ogwewuunyisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Mukama aligolokoka nga bwe yagolokokera ku lusozi Perazimu, alisunguwala nga bwe yasunguwalira mu kiwonvu eky'e Gibyoni; akole omulimu gwe, omulimu gwe ogw'ekitalo, era atuukirize ekikolwa kye, ekikolwa kye eky'ekitalo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama alisituka n'alwana, nga bwe yalwana ku Lusozi Peraziimu. Alisunguwala nga bwe yasunguwala mu kiwonvu kye Gibiyoni, alyoke akole ky'ayagala okukola, akole omulimu gwe ogwewuunyisa era ebikolwa bye eby'amagero.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)