Isaiah 28:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno eby'okunyooma mubiveeko, sikulwa ng'envuba zammwe zinyuunyuulibwa, kubanga mpulidde ekiragiro eky'okuzikiriza eggwanga lyonna nga kiva ew'Omukama Katonda w'Amagye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo mulekeraawo okunyooma, enjegere zammwe zireme kweyongera kubazitoowerera. Nawulira okuva eri Mukama Katonda ow’Eggye ng’awa ekiragiro ekizikiriza ensi yonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno temuba banyoomi, enjegere zammwe zireme okunywezebwa; kubanga n'awulira okuva eri Mukama ow'eggye ng'awa ekiragiro okuzikiriza ensi yonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale okulabula temukunyooma, enjegere ezibasibye zireme kunywezebwa, kubanga mpulidde nga Mukama Nnannyinimagye Afugabyonna, amaliridde okusaanyaawo ensi eno.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno temuba banyoomi, enjegere zammwe zireme okunywezebwa: kubanga okukomekkereza era okwateesebwa kwe mpulidde okuva eri Mukama, Mukama ow'eggye, ku nsi yonna.