Isaiah 28:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'amala okwanjala, tasigamu mpinnamuti, n'amansaamu ne kontamiiri, eŋŋano n'agisimba mu kifo kyayo ne sayiri awawe, ate kusemesi n'abeera ku lubibiro?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’amala okulyanjaala, tasigamu mpinnamuti, n’asaasaanya kumino? Tasiga ŋŋaano mu kifo kyayo, ne sayiri mu kibanja kyayo, n’omukyere mu nnimiro yaagwo?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'amala okulittaanya lyonna, tayiwa ntinnamuti, n'asaasaanya kumino, n'asiga eŋŋaano ennyiriri ne sayiri mu kifo ekiragiddwa n'obulo ku lubibiro lwayo?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'amala okuttaanya ettaka lyonna, asigamu ensigo ze z'ayagala: ng'ez'ebijanjaalo, soya, oba kasooli. Asiga eŋŋaano ne bbaale ng'abitegeka mu nnyiriri, ne ku nsalosalo y'ennimiro ze n'asimbako ebirime ebirala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'amala okulittaanya lyonna, tayiwa ntinnamuti, n'asaasaanya kumino, n'asiga eŋŋaano ennyiriri ne sayiri mu kifo ekiragiddwa n'obulo ku lubibiro lwako?