Isaiah 28:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Empinnamuti tezisekulibwa na musekuzo, yadde ekigaali okuyisibwa ku kontamiiri; wabula empinnamuti zikubibwa na muggo, ne kontamiiri awuulibwa buwuulibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Empinnamuti teziwuulibwa na luso, newaakubadde okunyiga kumino ne nnamuziga w’eggaali. Empinnamuti zikubibwa na muggo ne kumino n’ekubibwa n’oluga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga entinnamuti teziwuulibwa na kintu kya bwogi, so ne kumino tebaginyooleranyoolerako nnamuziga w'eggaali; naye entinnamuti ziwuulibwa na muggo, ne kumino na luga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebijanjaalo tebiwuulibwa na musekuzo muzito, kye kimu era ne kawo. Naye bakozesa muggo ogutaabisekulesekule.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga entinnamuti teziwuulibwa na kintu kya bwogi, so ne kumino tebaginyooleranyoolerako namuziga w'eggaali; naye entinnamuti ziwuulibwa na muggo, ne kumino na luga.