Isaiah 28:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'ekimuli ekigenda kisiiwuuka eky'ekitiibwa eky'ettendo lye, ekiri waggulu w'ekiwonvu ekigimu, kiriba ng'ekibala ky'omukunyu ekyengera ng'ekyeya tekinnaba; omuntu olukiraba n'akikwatako mu ngalo ze, alya kirye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekimuli ekyo ekiwotoka eky’obulungi bw’ekitiibwa kye ekiri waggulu w’ekiwonvu ekigimu, kiriba ng’ettiini erisooka okwengera nga n’amakungula tegannatuuka, era omuntu bw’aliraba alinoga n’alirya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'ekimuli ekiwotoka eky'obulungi bwe obw'ekitiibwa, ekiri ku mutwe gw'ekiwonvu ekigimu, kiriba ng'ettiini erisooka okwengera ekyeya nga tekinnatuuka; oyo alitunuulira bw'aliraba nga likyali mu mukono gwe aliririra ddala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekitiibwa ky'abakulembeze abo abatamiivu, ekiseebengerera, kiriggwaawo ng'ebibala by'emitiini ebisooka okwengera ng'ekyeya tekinnatuuka, ebinogebwa ne biriibwa amangu ddala nga byakengera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ekimuli ekiwotoka eky'obulungi bwe obw'ekitiibwa, ekiri ku mutwe gw'ekiwonvu ekigimu, kiriba ng'ettiini erisooka okwengera ekyeya nga tekinnatuuka; oyo alitunuulira bw'aliraba nga likyali mu mukono gwe alirira ddala.