Isaiah 28:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
y'aliba omwoyo ogw'obwenkanya mu oyo atudde okulamula, era amaanyi g'abo abazza olutalo ennyuma nga luli ku wankaaki.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Aliba n’omwoyo ogw’okusala ensonga mu bwenkanya oyo atuula n’asala emisango, Aliba nsibuko ya maanyi eri abo abawoza olutabaalo ku wankaaki.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era aliba mwoyo gwa kusala misango eri oyo atuula ng'asala emisango, era aliba maanyi eri abo abazzaayo olutalo mu mulyango.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aliwa omwoyo ogw'obwenkanya abalamuzi abasala emisango, era aliwa amaanyi abaserikale abataasa emiryango gy'ekibuga, okukitaasa mu lutalo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era aliba mwoyo gwa kusala misango eri oyo atuula ng'asala emisango, era aliba maanyi eri abo abazzaayo olutalo mu mulyango.