Isaiah 28:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kituufu na bano bataga olw'evviini, abayenja olw'omwenge: bakabona n'abalanzi bataga olw'omwenge, evviini ebamazeemu, bayenja olw'omwenge, bawaba mu kulabikirwa, beesittala nga bawa ennamula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bano nabo batagala olw’omwenge, era bawabye olw’ekitamiiza; Bakabona ne bannabbi batagala olw’ekitamiiza, era bawabye olw’omwenge; bawabye olw’ekitamiiza, batagala ne bava mu kwolesebwa, era tebasalawo nsonga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye era nabo bakyamye olw'omwenge, era ekitamiiza kibawabizza; kabona ne nnabbi bakyamye olw'omwenge, omwenge gubasaanyizzaawo, bawabye olw'ekitamiiza; bakyama mu kwolesebwa, beesittala mu kusala emisango.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakabona n'abalanzi nabo boonooneddwa omwenge: ebitamiiza bibawabizza, omwenge gubasaanyizzaawo. Batambula batagatta olw'obutamiivu, abalanzi ne batategeera bibalagibwa mu kulabikirwa, ne bakabona abatamidde ne batasala bulungi nsonga eziba zibaleeteddwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye era nabo bakyamye olw'omwenge, era ekitamiiza kibawabizza; kabona ne nnabbi bakyamye olw'omwenge, omwenge gubasaanyizzaawo, bawabye olw'ekitamiiza; bakyama mu kwolesebwa, beesittala mu kusala emisango.