Isaiah 28:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ani gw'anaayigiriza okumanya? Ani gw'anannyonnyola obubaka?” Abaana abaakaleka okuyonka, oba abo abakaggyibwa ku mabeere?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ani gw’agezaako okuyigiriza? Ani gw’annyonnyola obubaka bwe? Abaana abaakalekayo okuyonka oba abo abaakaggibwa ku mabeere?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ani gw'aliyigiriza okumanya? Era ani gw'alinnyonnyola obubaka bwe? abo abaleseeyo okuyonka, abavudde ku mabeere?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Banneemulugunyiza nga bagamba nti: “Oyo ayigiriza ani? Era ani gw'ajja okubuulirira? Mpozzi asomese abo abato abaakava ku mabeere!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ani gw'aliyigiriza okumanya? era ani gw'alitegeeza ebibuulirwa? abo abaleseeyo okuyonka era abavudde ku mabeere?