Isaiah 29:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okulabikirwa kwa bino byonna mmwe kubafuukidde ng'ebigambo ebiri mu kitabo ekisibiddwako envumbo. Bwe bakiwa omuntu asobola okusoma, ne bamugamba nti: “Soma kino,” abagamba nti: “Sisobola, kubanga kisibiddwako envumbo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okwolesebwa kuno kwonna tekulina makulu gy’oli okuggyako okuba ebigambo ebissibwako akabonero mu muzingo. Omuzingo bw’oguwa omuntu, asobola okusoma n’omugamba nti, “Nkwegayiridde kino kisome,” ajja kukuddamu nti, “Sisobola, kuliko akabonero.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'okwolesebwa kwonna kufuuse gye muli ng'ebigambo eby'omu kitabo ekissibwako akabonero, abantu kye bawa omuntu eyayigirizibwa nga boogera nti, “Soma kino, nkwegayiridde,” n'ayogera nti, “Siyinza, kubanga kissibbwako akabonero.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amakulu gonna ag'okulabikirwa, gafuuse ng'ekitabo ekisibiddwako envumbo. Bwe kitwalirwa amanyi okusoma ne bamusaba nti: “Soma kino,” abaddamu nti: “Sisobola, kubanga kisibiddwako envumbo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'okwolesebwa kwonna kufuuse gye muli ng'ebigambo eby'omu kitabo ekissibwako akabonero, abantu kye bawa omuntu eyayigirizibwa nga boogera nti Soma kino, nkwegayiridde: n’ayogera nti Siyinza, kubanga kissibbwako akabonero: