Isaiah 29:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate bwe bakiwa atasobola kusoma, ne bamugamba nti: “Soma kino,” agamba nti: “Simanyi kusoma.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oba omuzingo bw’oguwa omuntu atasobola kusoma, n’omugamba nti, “Nkwegayiridde kino kisome,” ajja kukuddamu nti, “Simanyi kusoma.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Singa bamuwa ekitabo oyo ataayigirizibwa nga boogera nti, “ Soma kino, nkwegayiridde” Addamu nti, “Simanyi kusoma.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe bakiwa ataayiga kusoma ne bamusaba nti: “Soma kino,” abaddamu nti: “Ssaayigirizibwa kusoma.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne bamuwa ekitabo oyo ataayigirizibwa nga boogera nti Soma kino, nkwegayiridde: n'ayogera nti Siyigirizibwanga.