Isaiah 29:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama agamba nti: “Abantu bano bansemberera na kamwa bumwa, n'ekitiibwa bampa kya ku mimwa bumwa, emitima gyabwe gindi wala, n'okuntya kwe bantyamu, biragiro by'abantu bye bayigiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama agamba nti, “Abantu bano bansemberera n’akamwa kaabwe, ne banzisaamu ekitiibwa n’emimwa gyabwe, naye ng’emitima gyabwe gindi wala. Okunsinza kwe bansinza, biragiro abantu bye baayigiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'ayogera nti, Kubanga abantu bano bansemberera n'akamwa kaabwe, ne banzisamu ekitiibwa n'emimwa gyabwe, naye emitima gwabwe gindi wala, n'okuntya kwabwe kiragiro ky'abantu kye bayigirizibwa;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama n'agamba nti: “Abantu bano bansemberera ne banzisaamu ekitiibwa kya ku mumwa, nga kikoma mu bigambo bugambo, naye emitima gyabwe tegindiiko. N'okwandibadde okunsinza, bakuuma bulombolombo obubalagirwa abantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'ayogera nti Kubanga abantu bano bansemberera ne banzisaamu ekitiibwa kya mu kamwa kaabwe era kya ku mimwa gyabwe, naye omutima gwabwe baguntadde wala, n'okuntya kwame kiragiro kya bantu kye bayigirizibwa: