Isaiah 29:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno nzija kwewuunyisa abantu bano nate n'ebyamagero eby'omuddiriŋŋanwa. Amagezi g'abagezi galizikirira, n'okutegeera kw'abategeevu kulibulawo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo, laba ŋŋenda kwewuunyisa abantu bano. Amagezi g’abagezi galizikirira, n’okutegeera kw’abategeevu kuliggwaawo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kale, laba, ŋŋenda okukola omulimu ogw'ekitalo mu bantu bano, omulimu ogw'ekitalo era eky'amagero; n'amagezi g'abagezigezi baabwe galizikirira, n'okutegeera kwa bakabaka baabwe kulikwekebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale ndikola mu bantu bano ekyamagero kye balyewuunya. Amagezi g'abagezi mu bo, galibula, n'okutegeera kw'abakungu baabwe, kulikwekebwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale, laba, ŋŋenda okukola omulimu ogw'ekitalo mu bantu bano, omulimu ogw'ekitalo era eky'amagero: n'amagezi g'abagezigezi baabwe galizikirira, n'okutegeera kwa bakabaka baabwe kulikwekebwa.