Isaiah 29:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zibasanze abakka wansi ekkuzimu okukweka Omukama enteesa zaabwe, ng'ebikolwa byabwe babikola mu nzikiza, ne bagamba nti: “Ate ani atulaba? Ani alimanya?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Zibasanze abo abakola kyonna kye basobola okukweka Mukama enteekateeka zaabwe, abo abakola emirimu gyabwe mu kizikiza nga bagamba nti, “Ani atulaba? Ani alimanya?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Zibasanze abo abakka ennyo wansi okukweka Mukama okuteesa kwabwe, n'emirimu gyabwe giri mu kizikiza, ne boogera nti, “ Ani atulaba? Era ani atumanyi?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Zibasanze abo abeerimba mbu bakweka Mukama bye bateesa, era abalina bye bakolera mu kizikiza. Bagamba nti: “Ani atulaba? Ne bye tukola ani abimanyi?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Zibasanze abo abakka ennyo wansi okukweka Mukama okuteesa kabwe, n'emirimu gyabwe giri mu kizikiza, ne boogera nti Ani atulaba? era ani atumanyi?