Isaiah 29:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mmwe ebintu mubifuddefudde. Omubumbi oyinza okumuyita ebbumba? Ekintu ekikoleddwa kiyinza okugamba akikoze nti: “Si ye yankola”? Yadde entamu okugamba omubumbi nti: “Tategeera”?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mufuula ebintu ne birabika ng’omubumbi alowoozebwa okwenkanankana n’ebbumba. Ekyakolebwa kiyinza okwogera ku eyakikola nti, “Teyankola”? Ensuwa eyinza okugamba omubumbi nti, “Talina ky’amanyi”?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muvuunikira ddala ebintu. Omubumbi balimwenkanya ebbumba; ekintu ekikolebwa n'okwogera ne kyogera ku oyo eyakikola nti, “Teyankola;” oba ekintu ekibumbibwa ne kyogera ku oyo eyakibumba nti, “Talina magezi?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muvuunikira ddala ebintu! Omubumbi ageraageranyizibwa n'ebbumba? Ekintu omuntu ky'akoze, kiyinza okumugamba nti: “Tewankola?” Oba ekintu ekibumbibwa, kiyinza okugamba akibumba nti tategeera?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muvuunikira ddala ebintu. Omubumbi balimwenkanya ebbumba; ekintu ekikolebwa n'okwogera ne kyogera ku oyo eyakikola nti Teyankola; oba ekintu ekibumbibwa ne kyogera ku oyo eyakibumba nti Talina magezi?