Isaiah 29:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku olwo bakiggala baliwulira ebigambo eby'omu kitabo, n'amaaso ga bamuzibe galiva mu kibululu n'ekizikiza ne galaba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu biro ebyo abaggavu b’amatu baliwulira ebigambo by’omuzingo, n’amaaso g’abazibe galizibuka okuva mu kiseera ekizibu ne mu kizikiza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ku lunaku luli omuggavu w'amatu aliwulira ebigambo by'omu kitabo, n'amaaso g'omuzibe galiraba okuva mu butalaba ne mu kizikiza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiseera ekyo bwe kirituuka, kiggala aliwulira ebimusomerwa mu kitabo, n'amaaso ga muzibe agabadde mu kizikiza, galitunula ne galaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ku lunaku luli omuggavu w'amatu aliwulira ebigambo by'omu kitabo, n'amaaso g'omuzibe galiraba okuva mu butalaba ne mu kizikiza.