Isaiah 29:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
abo n'ebigambo byabwe abaasinzisanga abantu emisango, abatega emitego oyo ayeewozaako mu mbuga, n'obujulizi obw'obulimba abalemesa omutuufu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
abo abakozesa ebigambo okufuula omuntu omusobya, abatega eyeerwanako mu mbuga z’amateeka, abawa obujulizi obw’obulimba, ne baleetera abataliiko musango obutawulirwa mu mbuga z’amateeka, balisalibwako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abo abakozesa ebigambo okufuula omuntu omusobya, ne batega awa obujulizi mu musango, ne basingisa omusango omutuukirivu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda alizikiriza abo abawaayiriza bannaabwe emisango gye batazzizza, n'abo abazibira eyagizza aleme kubonerezebwa, era ne balemesa omutuufu okusalirwa amazima.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
abafuula omuntu omusobya mu musango, ne bamutegera omutego anenya mu mulyango, ne bakyamya omutuukirivu n'ekitaliimu.