Isaiah 29:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'olw'ekyo Omukama, Omununuzi wa Yiburayimu agamba bino ennyumba ya Yakobo nti: “Yakobo takyazzeeyo kukwatibwa nsonyi n'amaaso ge tegakyaddayo kuswala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo Mukama eyanunula Ibulayimu bw’ati bw’ayogera eri ennyumba ya Yakobo nti, Yakobo taliddayo kuswazibwa, n’obwenyi bwabwe tebulisiiwuuka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama eyanunula Ibulayimu kyava ayogera ku nnyumba ya Yakobo nti, “Yakobo taliddayo kuswazibwa, so n'obwenyi bwe tebulisiiwuuka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama eyanunula Aburaamu kyava ayogera ku nnyumba ya Yakobo, nti: “Aba Yakobo tebaliddamu kuswazibwa, n'amaaso gaabwe tegaliddamu kusiiwuuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama eyanunula Ibulayimu kyava ayogera mu nnyumba ya Yakobo talikwatibwa nsonyi kaakano, so n’amaaso ge tegalikyuka bbala lyago.