Isaiah 29:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'aliraba abaana be mu makkati ge, abo emirimu gy'emikono gyange, balitukuza erinnya lyange; balitukuza Omutukuvu wa Yakobo, baliwuniikirira olwa Katonda wa Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baliraba omulimu gw’emikono gyange mu baana baabwe, balikuuma erinnya lyange nga ttukuvu. Balikakasa obutuukirivu bw’Omutukuvu wa Yakobo era baliyimirira ne beewuunya Katonda wa Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bw'aliraba abaana be, omulimu gw'emikono gyange, wakati mu ye, balitukuza erinnya lyange; weewaawo, balitukuza Omutukuvu owa Yakobo, era balyewuunya Katonda wa Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe muliraba ku baana be ndibawa mmwe, mulitegeera bwe ndi Omutuukirivu wa Yakobo. Mulinzisaamu ekitiibwa Nze Katonda wa Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bw’aliraba abaana be, omulimu ogw’engalo zange, wakati mu ye, balitukuza erinnya lyange; weewaawo, balitukuza Omutukuvu owa Yakobo, era balitekemukira Katonda wa Isiraeri.