Isaiah 29:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ng'omaze okussibwa wansi, olyogerera ku ttaka wansi; oliyima mu nfuufu okumuumuunya by'oyagala okwogera, eddoboozi lyo liriva wansi mu ttaka ng'ery'omuzimu, olyogera bwama ng'osinziira mu nfuufu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olikkakkanyizibwa era olyogera ng’oli mu ttaka, n’ebigambo byo biriwulikika nga biri wansi nnyo ng’oli mu nfuufu. Eddoboozi lyo liriba ng’ery’oyo aliko akazimu nga liva mu ttaka, n’ebigambo byo biriba bya kyama nga biva mu nfuufu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era olikkakkanyizibwa, era olyogera ng'oyima mu ttaka, n'ebigambo byo biriwulikika nga biri wansi nnyo ng'oli mu nfuufu; n'eddoboozi lyo liriba ng'eryoyo aliko omuzimu, nga liva mu ttaka, n'ebigambo byo biryogerwa kyama nga biva mu nfuufu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yerusaalemu, oliba ng'omuzimu ogufuba okwogera nga gusinziira wansi mu ttaka, eddoboozi lyo nga lya kaama, okuva eyo mu nfuufu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era olikkakkanyizibwa, era olyogera ng'oyima mu ttaka, n'ebigambo byo biriba wansi nga biyima mu nfuufu; n'eddoboozi lyo liriba ng'eryoyo aliko omuzimu, nga liyima mu ttaka, n'ebigambo byo biryogerwa kyama nga biyima mu nfuufu.