Isaiah 29:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka ebbiina ly'abalabe bo liriba ng'olufufugge lw'enfuufu, n'ebbiina ly'abakambwe liriba ng'ebisusunku ebikuŋŋunsibwa. Amangu ddala, mu kabanga bubanga,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abalabe bo abangi baliba ng’enfuufu eweweddwa, n’ebibinja by’abakozi b’ebibi abasingayo obubi bibe ng’ebisasiro ebifuumuuka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ekibiina eky'abalabe bo kiriba ng'effufugge, n'ekibiina eky'ab'entiisa kiriba ng'enfuufu efuumuuka; weewaawo, kiriba kya kaseera mangu ago.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Naye ebbiina ly'abalabe bo lirifuumuulwa ng'enfuufu, n'ebibinja byabwe eby'entiisa birifuumuuka ng'ebisusunku, ate mu kaseera mpawekaaga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ekibiina eky'abalabe bo kiriba ng'effufugge, n'ekibiina eky'ab'entiisa kiriba ng'enfuufu efuumuuka: weewaawo, kiriba kya kaseera mangu ago.