Isaiah 29:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama w'Amagye alijjira mu kubwatuka, musisi n'eddoboozi eddene, mu kikuŋŋunta, mu kibuyaga ne mu nnimi z'omuliro ogubengeya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amangwago mu kaseera katono Mukama Katonda ow’Eggye alikukyalira mu kubwatuuka ne mu musisi, ne mu ddoboozi ery’omwanguka, ne mu kibuyaga ne mu nnimi z’omuliro omukambwe oguzikiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Alijjirwa Mukama ow'eggye n'okubwatuka, n'ekikankano ky'ensi, n'eddoboozi eddene, n'akazimu ne kibuyaga, n'olulimi olw'omuliro ogwokya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze Mukama Nnannyinimagye ndikutaasa nga nkozesa okubwatuka n'okukankana kw'ensi, ne kibuyaga akunta, n'ennimi ez'omuliro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Alijjirwa Mukama ow'eggye n'okubwatuka n'ekikankano ky'ensi, n'eddoboozi eddene, n'omuzimu ne kibuyaga n'olulimi olw'omuliro ogwokya.